Amawulire
Ababaka Nsereko, Kivumbi,ne SSekikubo bakwatiddwa
Ababaka basatu bakwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi okukuba omukka ogubalagala mu katale ke wa kisekka.
Emirimu gisoose kusanyalala mu katale kano oluvanyuma lwa Poliisi okukuba omukka ogubalagala mu basuubuzi kano ababadde bakungaanye okukulisa ababaka muhammade Nsereko ne Theodre ssekikubo.
Omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi yabadde abavuga era naye akwatiddwa.
Abalala abakwatiddwa kuliko Theodre Ssekikubo, ne Mohammed Nsereko
Ababaka bano babadde bava mu kkooti nga bagenda ku mikolo gy’okusonda ensimbi z’amasiro mu katale ka paakayaadi.
Ababaka bano kati bakuumirwa ku poliisi ya kampala mukadde.
Akulira poliisi ku CPS, Denis Namuwooza agamba nti ababaka bano bakwatiddwa kubanga babadde bakyankalanya emirembe mu kaseera nga katikkiro ali mu Kibuga
Ono era agambye nti aba poliisi 3 bakubiddwa amayinja mu kavuvungano akabaddewo.