Ebyobulamu
Abakyala tebafibwaako
Abakyala abalina obulwadde bwa Mukenenya mu Africa tebafuna buyambi bwebetaaga
Ab’omukago gwa palamenti ya Africa balaze obwenyamivu nti abakyala bakyaboolebwa olw’okubeera n’akawuka ka mukenenya.
Ababaka abakyala mu palamenti eno boogeddeko eri bannamawulire nebategeeza ng’abakyala bwebalekeddwa amabega mu nsonga eziwera ebikwata ku byobulamu ate nga beebamu ku babonaboona ennyo.
Bano bagamba nti abakyala bangi tebafuna bujjanjabi bwebetaaga naddala abo ababeera mu byaalo
Ababaka okubadde Elsie Ayeh ne Dr Margret Mungherera kati bagaala gavumenti etuukirize emirimu gyaabwe okulaba nti abakyala bafibwaako.