Ebyobulamu
Ab’obulwaliro bubakeredde
Ekitongole ky’ebyeddagala mu ggwanga kyakuvunaana abo bonna obulwaliro bwaabwe obwagalwa naye nga betumikirizza nebaddamu okubuggula.
Kino kiddiridde ebigambibwa nti bananyini bulwaliro buno okwetolola eggwanga bagera ab’ekitongole kino bagenze nga baddamu okukola.
Kati akulira ekitongole kino Gordon Ssematiko agamba banji baguddewo mu bubba nga tebanatukiriza mutindo gwetagisa okutunda eddagala lino n’okujanjaba abalwadde.
Wabula agamba nti banji batukirizza omutindo ogwetagisa era bakola bulungi emirimu gyaabwe.