Amawulire

Kasibante talabiseeko mu kkooti- omusango gugenze mu maaso

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Kasibante nnn

Omubaka wa Rubaga ey’obukiika kkono , Moses Kasibante talabiseeko mu kooti ku musango ogumuvunanibwa ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwonona emmotoka ya poliisi.

Wabula munamateekawe  Simon Ssebyuuma awaddeyo okwewozaako kw’omuntu we nasaba kooti emwejereze kubanga tayononangako mmotoka ya poliisi yonna nga bwekigambibwa.

Ono era asambazze ebya Kasibante okukuba olukungaana olumenya amateeka wali e Nankulabye nagamba nti abantu bebagoberera Kasibante bweyali atambula mu bitubndu bye Nankulabye.

Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 2 omweezi ogwokutaano olwo n’oludda oluwaabi lutandike okuwoza.

Kooti era elagidde Kasibante okulabikako mu kooti ku lunaku lwelumu.