Amawulire
Buganda yakukuza olunaku lw’abakyala
Buganda egenda kutandiika okukuza olunaku lw’abakyala buli mwaka.
Omwaka guno Buganda yakutandika okukuza olunaku lw’abakyala nga 16 omwezi guno n’omupiira gw’abakyala mu masaza agenjawulo.
Nga 18 abakyala bakubeera ne ttabamuluka agendereddwamu okukubanganya ebiroowozo kungeri eyokutumbula embeera z’abakyala.
Minister w’abakyala mu Bwakabaka Christine Mugerwa Kasule agambye nti Buganda eyagala ekozese enaku zino okulwanyisa obwavu, okutulungunya abakyala wamu n’okulwanyisa eddwadde mu bakayla.
Kasule era agambye Nabagereka wa Buganda wakutongoza ekyalo amatendo mu district ye Kyankwanzi mu saza lya Ssingo nga 22 omwezi guno, ekinabeera ekyokulabirako mu Buganda.