Amawulire
Bana beebali mu kamyuufu ka NRM
Bannakibiina kya NRM abalala babiri bawandiisiddwa okuvuganya mu kamyuufu k’ekibiina
Hajji Twaha Najja y’asoose okuwandiisibwa olunaku lwaleero era ng’ono asuubizza kibuga kisingako ekiriwo kati
Ono addiddwaako Fred Kazibwe omusuubuzi mu Ndeeba nga yye agamba nti azze kumalawo bakulembeze abasuubiza empewo
Yye kamisona akola ku by’okuwandiisa mu kibiina kya NRM, Dorothy Kisaka agamba nti okutwaliza awamu tewabaddeewo muzibu bwonna nga byonna bitambudde bulungi.
Bano bagasse ku Peter Ssematimba ne Meddie Kasule abawandisiddwa olunaku lwajjo.