Ebyobusuubuzi

Ensimbi z’obwegassi bazirya

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

micro finance support center

Enteekateeka ya gavumenti ey’okuwola ebibiina by’obwegassi ensimbi efunye ekkonde.

Obuwumbi bubiri bwebwakabwebwenebwa ebibiina by’obwegassi naye nga tebisasula

Ebisinga ababikulembera bwebamala okuuna ensimbi nga badinga abantu okubegattako era bwebamala okubajjamu ensimbi nga babula

E Luweero yonna, abasuubuzi abawerera ddala 50 beebabbibwa ekibiina ekimanyiddwa nga Foster Families

Omukungu mu kitebe ekiddukanya ensawo esakiririra ebibiina bino, Rosette Nakanwagi  agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku mateeka agataliiwo kugoberera bibiina bino.

Ono abadde ayogerera ku musomo gw’okukubaganya ebirowoozo ku bituukiddwaako n’ebikyagaanye mu kussa mu nkola enteekateeka eno.