Amawulire
Eryaato eribbidde- Emirambo egyakanyululwa giri 20
Eryaato eribadde lukubyeeko aba Congo ababadde badda ewaabwe libbidde.
Abantu 20 beebakanyulwaayo nga bafu, nga ku bano abaana bataano ,28 babasanze bakyaali balamu. Omuyiggo gukyagenda mu maaso.
Omubaka omukyala owe Ntoroko, Jennifer Mujungu akakasizza bino n’ategeeza ng’abantu bano beebamu kw’abo abajja mu Uganda nga babundabunda nga kati babadde badda waabwe.
Mujungu agamba nti eryaato libadde litisse akabindo
Eryaato lino libadde lisaabalirira ku nyanja Albert nga liva ku mwaalo gwe Kanara mu disitulikiti ye Ntoroko.