Ebyobulamu

Ebbula ly’amazzi e Mulago- Akafubo

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

mulago kids

Abakulira eddwaliro ekkulu erye Mulago  n’abakungu b’ekitongole kya mazzi bakusisinkana olunaku olwaleero okuteesa ku kumalawo ebbula ly’amazzi mu ddwaliro lino oluvanyuma lw’okusalwako wiiki namba  olw’ebbanja.

Omwogezi w’eddwaliro lino Enoch Kusasira agamba nti bakufuba okulaba nga batuuka ku nzikirizigana okutaasa ku mbeera.

Wiiki ewedde abakulira eddwaliro lino baalajana olwa waadi  ezisinga obutabaana mazzi nga batya nti cholera yandibalukawo.