Amawulire
Abagambibwa okulya abantu bakwatiddwa
E Rakai abantu 4 abagambibwa okuba abali b’abantu abalamu abakakanye ku mukazi n’omwana we nebabalya bonna bakwatiddwa.
Bano bazindukiriza Gabriel Bandigi , mukyala we o’wolubuto ,n’omwana waabwe omuto kyokka nga yye omusajja basobodde okudduka n’ebisago by’ejjambiya
Adumira poliisi ye Rakai Nelson Sooma agamba poliisi ekyanonyereza ku nsonga eno nga tebayinza kukakasa kati nti ddala bano basezi .