Amawulire
Teri kulonda, Lukwaago ye Loodimeeya- Kkooti
Kkooti eyimirizza okulonda loodimeeya omuggya
Omulamuzi Lydia Mugambe asazeewo nti olukiiko olwayitibwa okugoba Lukwago lwayitibwa mu bumenyi bw’amateeka
Omulamuzi era agambye nti kooti yayisa ekiragiro ekiyimiriza olukiiko luno era nga ne minister eyayita olukiiko luno yali ategeezeddwa mu budde
Omulamuzi agambye nti ebikolwa bya ssabawolereza wa gavumenti bimenya mateeka era nga kiswaaza nti yye alina okuwabula gavumenti ku mateeka ate y’agamenya
Omulamuzi era alumbye akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi gw’agambye nti talina kubako luuyi kyokka nga naye yefunyiridde okweyingiza mu nsonag z’amateeka
Ono akkiriziganyizza n’omulamuzi yasin Nyanzi nti Lukwago ye loodimeeya era n’okulonda nekuyimirizibwa