Amawulire
Ababaka beekandazze
Ababaka aabamu beekandazze nebafuluma akakiiko akakola ku byokwerinda mu palamenti
Kiddiridde akulira akakiiko kano Bena Namugwaanya okusuula ettayo eby’okuteesa ku by’okutulugunya abavuganya.
Ababaka baabaadde bagaala minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga alabiseeko mu kakiiko kano okunyonyola lwaki poliisi etulugunya abavuganya
Wabula omubaka Namugwanya agambye nti kino tekibadde ku lukalala lw’ebiteesebwaako kale nga babadde bakubyogerako
Ababaka abekandazze kuliko Muwanga Kivumbi, Wamai Wamanga ne Ken Lukaymuzi anga kati bagaala ensonga etwaalibwe mu Lukiiko lwa palamenti olwa wamu.