Amawulire

Abatujju beswanta

Ali Mivule

April 5th, 2014

No comments

Kaihura on terrorism

Poliisi eyisizza okulabula okujja nti abatujju bateekateeka kulumba uganda

Bano ku luno bagaala kulumba masomero mu masekkati nn’obuvanjuba bw’eggwanga.

Ekiwandiiko ekiva mu poliisi nga kiriko omukono gwa Gen Kale Kaihura kitegeezezza nga poliiis bwekitegeddeko nti abatujju bano bwebagenda okuyita mu bayekeera ba ADF  nga bano beebagenda okulumba amasomero.

Kaihura asabye amasomero okussaawo obuuma obukebera abantu abayingira okulaba ababi tebayitawo.

Ono era ajjukizza minisitule y’ebyenjigiriza ku bikwekweto n’okusomesa ab’masomero ku by’okwerinda obutaanguyiza batujju mulimu