Amawulire
Okuvvoola abaana kweyongedde- obubenje bwa boda bungi
Alipoota efulumiziddwa poliisi eraga nti emisango gy’okusobya abaana gyeyongedde
Alipoota ey’omwaka oguwedde eraga nti okweyongera kuno kwa bitundu 18.4 ku kikumi
Bwegutuuse ku kuvvoola eddembe ly’abaana, wabaddewo okweyongera ddala nga kutuuse ku bitundu 38 kikumi.
Obukubagano mu maka nabwo bwaali bungi ddala nga bwalinnya n’ebitundu 18.4 ku kikumi okusingako omwaka guli
Bbo abantu bakyatwalira amateeka mu ngalo era nga waliwo okweyongera mu misango gy’ekika kino ate nga n’abakuba amasasi mu bantu mu kyeyononero beyonodde
Wabula okutwaliza awamu, obuzzi bw’emisango bukendeddemu naye nga kibadde kitono
Emisango egikendedde, egyekuusa ku byensimbi nga gino gisse n’ebitundu 10, egy’ebiragalaragala ku 14.7%, ate obuzigu bwasse ebitundu 15.8 %
Bwegutuuka ku bubenje, buno bwakendeera omwaka oguwedde n’ebitundu 7.6 ku buli kikumi
Kuno kwekukendeera okwakasinga obunene mu myaka musanvu
Wabula ate bbwo obubenje obukolebwa bodaboda buzze bweyongera
Kino kissiddwa ku ba boda okuvuga nga batamidde.
Ng’afulumya alipoota eno, aduumira Poliisi Gen Kale Kaihura agambye nti okukendeera mu misango kwaava ku bantu okubeera obulindaala.
Kaihura era agambye nti bagenda kwongera okutendeka ba ofiisa baabwe ku kulwanyisa obumenyi bw’amateeka.