Amawulire
Tunonyereza ku mirambo mu kibuga- Poliisi
Poliisi etandise okunonyereza ku mirambo ebiri egizuuliddwa wakati mu kibuga enkya ya leero.
Abasajja bano bombi emirambo gyaabwe gisangiddwa ku kibangirizi kya Clock Tower era nga kitebeerezebwa nti babadde basaabaze ababadde bagenda okulinnya taxi mu paaka ya USAFI
Emirambo gino zeezimu ku nsonga ezivuddeko aba taxi okukeera okwekalakaasa nga bagamba nti eby’okwerinda okwetoloola paaka ya USAFi ssi birungi ng’obulamu bw’abasabaaze buli mu matigga
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti okunonyereza kutandise n’asaba abantu okusigala nga bakkakkamu