Amawulire
USAFI -Aba taxi bazzeemu okwediima
Abagoba ba taxi abasindikiddwa mu paaka ya Usafi batudde mu Lukiiko okuteesa ku ky’okubagoba mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi.
Kino kiddiridde amakya galeero bano okuva mu mbeera nebediima okusaabaza omuntu yenna nga bawakanya ekya KCCA okubasindikiriza okuva mu paaka enkadde.
KCCA yajjuludde siteegi 16 ezikwata ku lw’entebbe okudda mu paaka ya Usafi .
Ku bano kuliko aba siteegi ye Ggaba abagobwa mu paaka ya cooper complex nga era bawakanya eky’okubasindikiriza.
Mu lukiiko luno era bateesezza ku by’okwerinda oluvanyuma lw’abantu babiir okuttibwa mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero