Ebyobulamu

Abasoma obusawo bazze ku mirimu

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

Mulago hospital

Abayizi abasoma obusawo e Mulago bazzemu okukola oluvanyuma lw’ennaku ssatu nga beediimye lwa butasasulwa

Gibadde giweze emyezi ebiri nga tebasasulw aoluvanyuma lw’emisaala gyaabwe okusindikibwa mu akawunta enfu

Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba nti basobodde ensimbi zino okuzisindika ku akawunta entuufu era ng’abayizi bano kati basaasuddwa

Abayizi bano baali bakoma okwekalakaasa omwaka ogwuedde ng’ebizibu biva ku mbeera embi mwebaali basula