Amawulire

Tetwagala USAFI- aba taxi

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Taxi drivers strike

Aba taxi okugobwa mu paaka enkadde okudda mu ya Usafi tebanakikiriza nga kati basazeewo okwediima okusaabaza abantu abakwata ku luguudo lwe Entebbe.

Taxi zonna ezikolera mu kibuga wakati zisimbiddwa okujjako ezikolera mu  paaka ye Nakawa ne Nateete.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta ba deereva neba kondakita , Mustafa Mayambala agamba kino kyakugenda maaso okutuusa nga aba KCCA babaako nekyebakola okubayamba.

Abagoba ba taxi bano kati bali mu lukungaana okuteesa ekiddako oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga abadde ava mu makage Entebbe okuyimirira nabasuubiza okubayita batuule bateese ku nsonga eno.

Olunaku olw’egulo abagoba ba taxi bano bekalakaasizza lwa nsonga yeemu.

Kino kikalubirizza nyo abasaabaze nga  bangi era abasinga bakyakonkomaliridde ku makubo.

Wabula bino  webigyidde nga poliisi kyejje enenye abagoba ba tax nti bebaviiriddeko omugotteko gw’ebiduka mu kampala.

Akulira ebikwekweto bya poliisi y’ebidduka Norman Musinga agamba bano bebaviiriddeko obuvuyo kubanga bakyagaanye okugondera amateeka ga KCCA agagendereddwamu okukendeeza ku mugotteko mu kampala.

Agamba bano bano beebasimba taxi zaabwe mu miryango egifuluma ,n’okuyingira  paaka gyebasindikiddwa.

Kino wekigyidde nga KCCA ky’ejje eragire taxi ezikwata ku lwe Entebbe okudda mu paaka ya Usafi .