Amawulire

Poliisi yeeyakasinga okutulugunya abantu

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Police rough

Alipoota efulumiziddwa akakiiko ka gavumenti akalwanirira eddembe ly’abantu eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abalala

Alipoota eno eraga nti emisnago egyawaabwa poliisi gyava ku 346 mu mwaka gwa 2012 okudda ku misango 424 mu mwaka gwa 2013.

Poliisi eddibwaako abantu babulijjo ssekinoomu n’emisango 163 olwo amaggye g’eggwanga negaddako n’emisango 55.

Ab’amakomera ne gavumenti z’ebitundu beebaddako awo.

Akulira akakiiko kano Meddie Kaggwa agamba nti keekadde amaanyi gassibwe ku bantu ssekinnoomu kubanga kati balabika bavuganya ne poliisi.

Poliisi ezze yetikka ekikopo ky’okutulugunya abantu yadde nga yyo agamba nti abakola okunonyereza balimu kyekubiira