Amawulire
Kidandala Yasisinkana Kayihura
Amyuka loodi meeya wa Kampala Sulaiman Kidandala akirizza nga bweyasisinkanamu ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kaihura e masindi .
Wabula yeesamulira ddala eby’okusaba ssente zonna okulwanyisa loodi meeya Erias Lukwago ng’obutambi bw’amaloboozi bwebugamba .
Agamba amaloboozi gano gajingiriddwa n’ekigendererwa eky’okwonona erinya lye nga ye yali ayogera ku nsonga ndala nyo ne Kayihura okuli embeera eri ku city hall so ssi kusaba nsimbi.
Kidandala agamba akyali nyo ku ludda lwa loodi meeya Erias Lukwago n’asaba abantu obutesiga butambi bwamaloboozi gano.
Mu katambi k’amaloboozi gano Kidandala wamu n’omusajja omulala atanategerekeka bawulirwa nga boogera ku mbeera eri ku kitebe kya Kampala ekya City hall, olwo omusajja atanategerekeka n’asaba ensimbi nti ayambe okulongoosa embeera ku city hall.