Ebyobulamu
Obukiiko bulina okukola
RDC wa Kayunga, Rose Birungi akalatidde abasawo b’ebyalo (Village Health Teams – VHTs) bulijjo okukola egyabatumwa mu ngeri egwanidde mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu wano mu ggwanga.
Okwogera bwati, abadde abakwasa ba VHTs bano obugali bumanyi gakifuba obuweredde ddala 407 ku kitebe ky’eggombolola e Kayunga.
Wano wasinziridde nalaga okutya olw’engeri banayuganda gyebajjumbiddemu enteekateeka ya gavumenti ey’okuwandisa abantu okufuna eddaga muntu, nabakubiriza okujjetanira nti kubanga enindiriza yamezza ssemitego.
Era agumiza nabo bonna abatya okugenda okwewandisa olw’ensonga y’oluzungu, nti tiimu ezikola ku nsonga eno netegefu okuyamba buli muntu mu nteekateeka eno.