Ebyobulamu
Cholera e Moyo- 4 beebakafa
Minisitule ekola ku byobulamu ekakasizza nti obulwadde obutta abantu e Moyo cholera
Mu ngeri yeemu era n’omuwendo gw’abafudde obulwadde buno gulinnye okuva ku basatu okudda ku bana .
Abalala 64 baweereddwa ebitanda mu ddwaliro lya Obongi health center four
Omwogezi wa minisitule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti abasawo bamaze okutuuka wansi mu balwadde era nga babakolako n’okwongera okulaba obuzibu webuvudde kko n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu okusasaanya obulwadde
Bbo nno ababaka ba plaamenti okuva mu bitundu bye Moyo bagamba nti abasaawo abakola ku bantu batono ddala era nga n’ebikozesebwa bitono
Omubaka w’essaza lya Obongi Fungaroo Kaps Hassan agamba minisitule yandibadde eyongera ku misinde gy’ekolerako okulaba nti etaasa obulamu