Amawulire

Bannakenya beewandiisa

Ali Mivule

April 29th, 2014

No comments

ID registration

Ab’obuyinza mu district ye Namayingo ku nsalo eyawula Uganda ne Kenya beralikirivu olwabanakenya abatandise okusala ensalo nga besogga uiganda okwewandiisa okufuna endaga muntu z’eggwanga eziri mu kugabwa mu kiseera kino.

Kino okusinga kiri ku bizinga bye  Dorwe,kandeege, ne  Goloofa ewali bannakenya abanji nga era banji bakozesa akakisa kano okubeera n’obutuuze obw’emirundi 2.

Kati RDC mu kitundu kino Mpimbaza Hashaka agamaba embeera eno ereteddwawo bannabyabufuzi abasomba abantu bano okubajja e Kenya nga bayingira Uganda.