Olwali
Omubbi atya Kappa
Kati ono ye obubbi abuveeko kubanga tabusobola.
Omubbi amenye enyuma yomutuuze omu mu gwanga lya Romania nayingira , wabula kappa nemukanga naalya kava wansi wekitanda.
Sempala ono atidde nyo nga alaba nga kappa egenda okumukwagula olwo nakuba omulanga nga omwaana omuto.
Takomye awo akutte esimu nakubira police ejje emutaase mu kappa eno gyaatya okufa.
Police olutuuse musajja wattu ono tajiwade buzibu neyeewayo emutaase ku kappa nga yenna alimu ebitengo.
Kati ndowooza fenna tulunde kappa osanga zinatugobera ku babbi.
Naye haa, bano abawano abaffe bayinza nokuzituga.