Ebyobulamu
Abakyala 33 beebafa buli ssaawa nga bazaala
Abakyala 33 okwetoloola ensi yonna beebafa nga bazaala.
Ab’ekibiina ky’ensi ekikola ku byobulamu bagamba nti yadde wabaddewo okukendeera mu muwendo , tekyeyagaza kubanga 33 bakyala bangi nnyo okufa mu ssaawa emu.
Emiwendo gino egifulumiziddwa ekibiina kino era gireese obujulizi obuggya ku biki ebivaako abakyaala okufiira mu sanya oba nandi ki ekivaako ebaana beebazaala okufa
Ebisinga nno okuvaako abakyala bano okufa ekyewunyisa nti bisobola okwewalika ssinga ensimbi ezissibwa mu by’okuzaala kw’abakyala zongerwaako.
Mu myaka gya 1990, abakyala emitwaalo ataano beebali bafiira mu ssanya kyokka nga wegutuukidde mu mwaka oguwedde nga bali emitwaalo 289,000