Amawulire

Ebbago ku Siriimu Balisimbidde Ekkuuli

Ali Mivule

May 14th, 2014

No comments

 

aids

Okuyisa ebbago lya  siriimu omuli enyingo eziragira abasawo okwasanguza abalina siriimu wamu n’abakyala okukaka ba bbababwe okugenda okwekebeza sirimu kukyagyamu abantu abenjawulo omwasi.

Okusinziira ku kibiina ekirwanirira eddembe ly’abawangaala ne siriimu nga kwogasse amateeka ekya Uganda Network on law, Ethics and HIV, singa ebbago lino litekebwako omukono omukulembeze w’eggwanga mu mbeera eno gyelirimu, bannayuganda abali eyo mu 67% abatanekebeza siriimu bakwesamba okwekebeza.

Akulira ekibiina kino  Dora Musinguzi agamba nti yadde nga bawagira enyingo mu bbago lino elirwanirira abo abawangaala ne mukenenya, enyingo nga eya  21, 23, 39 and 41 zisaanye zisangulwe mu bbago lino nga terinafuuka tteeka.

Omu ku bakungu mu kibiina kino Noreem Kaleeba anyonyola.

Mu bbago lino singa omuntu asiiga munne siriimu mu bugenderevu asibwa emyaka 10 oba okusasula engassi yabukadde 5, obba byonna.