Amawulire
Bannasayansi Bafunvubidde Ku Ddagala Lya Siriimu
Abanonyereza ku ku kirwadde kya siriimu bategezezza nga bwebasenvudde mu kuzuula eddagala erinawonya mukenenya ono.
Okusinziira ku akulira amattendekero aganonyereza ku siriimu ono mu ggwanga ekya National Institutes of Health, Uganda, Steven Reynolds, waliwo eddagala erikyagezesebwa mu ggwanga lya Thailand eriyitibwa RV 144 nga likolera ddala ebitundu kati 41% eri abo abalikozesa.
Bannasayansi bazze bagezaako okuzula eddagala lya sirimu okuva mu gyekinaana naye nga terinazuuka.