Amawulire
Luweero ayuuguumye nga kampeyini zifundikirwa
Luweero ayuuguumye ng’abesimbyeewo ku kifo ky’omubaka omukyala bakomekkereza okuyigga akalulu.
Aba NRM babadde Bombo ng’eno pulezidenti Museveni asabye abantu okulonda Rebecca Nalwanga kubanga alina obusobozi.
E Wobulenzi, abavuganya gyebabadde nga bano babaddemu ababaka ba palamenti bonna.
Bano era beegattiddwaako eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga era Munna NRM kakongoliro Prof Gilbert Bukenya.
Bano bategeezezza nga Nabukenya bw’alina okudda mu palamenti k’abe Lubaale oba Katonda nebasaba abantu okujjumbira okulonda
Yyo Poliisi egamba nti okuyigga akalulu e Luweero kutambudde bulungi nga temuli kavuyo.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti okuleka obunyakuzi bw’ensawo n’amasimu obubadde mu kampeyini , tewabaddewo kavuyo ka maanyu
Enanga agamba nti balina abasirikale abamala beebagenda okussa mu bifo 375 awagenda okubeera okulonda okuyambako okwewala emivuyo
Okulonda kwa Lwakuna era ng’abantu bana beebesimbyeewo.