Amawulire
Bukenya wakwesimba ku Museveni
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya akinaguse nti teyejusa kunonyeza munna Dp Brenda Nabukenya kalulu mu district ye Luweero.
Bukenya yakubidde Nabukenya kakuyege e Luweero era nategeeza nga Nabukenya bwali omuntu omutuufu okuleetawo enkyukakyuka mu district eno.
Bukenya agamba Nabukenya Mukyala alengerera ewala, ate nga muvumu kale nga bannaLuweero tebasaanye kutunula walala nga balonda.
Wabula kyo ekibiina kye mwava ekya NRM kiwanda muliro .Amyuka nampala w’ekibiina kino David Bahati ategezezza nga Bukenya bweyamenye ssemateeka w’ekibiina era wakusimbibwa maaso g’akakiiko akakwasisa empisa abitebye.