Amawulire
Bbomu zisse abantu 17 mu Nigeria
Obulumbaganyi obulala obukoleddwa mu ggwanga lya Nigeria bulese abantu 17 nga bafudde
Kino kibaddde ku kyaalo Alargano mu bukiikakkono bwa Nigeria nga kino kiri kumpi n’ekyo ekyawambibwaako abawala abasoba mu 200.
Obulumbaganyi buno buzze ng’obulumbaganyi obulala mu kibuga Jos bwakatta abantu 118.
Mu bulumbaganyi buno aba Bokoharam banyaguludde n’ebintu bya bantu ku kyaalo Alargano.
Abantu ababeera mu bitundu bino bali mu bulabe bungi obw’okulumbibwa kubanga aba Bokoharam babeera kumpi nabo era nga kyangu okubalumba.