Amawulire
Abazadde Balabuddwa obutafumbiza Batanetuuka
Nga Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lw’obulwadde bw’okutonya mu bakyaala, abazadde baweereddwa amagezi okwewala okufumbiza bawala baabwe nga tebanetuuka.
Okusinziira ku kunonyereza kw’ebyobulamu okwakolebwa mu 2011,omuwala omu ku bana wakati w’emyaka 15 ne 19 wano mu ggwanga aba lubuto n’omwana we asooka nga babiri ku bano balwala ekirwadde kino mu lufuutifuuti ekimanyiddwa nga fisitula.
Omusawo okuva e Mulago Doctor Charles Kasozi agamba nti abawala banji obulamu bwabwe budobonkanira ku myaka emito lwakwanuwa kufumbirwa.