Ebyobulamu

Abalina Kkolera beeyongedde

Ali Mivule

June 2nd, 2014

No comments

Cholera chn

Nga 2 bebakafa, omuwendo gwabantu abakakwatibwa ekirwadde kya Kkolera mu district ye Namayayingo gweyongedde okulinya okutuuka ku bantu 54, yadde nga ministry y’ebyobulamu n’abakulira ebyobulamu ku district bakola ekisoboka okutakiriza embeera.

Omubaka wa pulezidenti mu district eno  Mpimbaza Ashaka ategezezza nga kati abamu ku balina kkolera ono bwebeyongeddeyo munda mu ggwanga lya Kenya ekyongera okweralikiriza.

Agamba ekisinga okukwaasa ennaku kwekuba nti abatuuze tebajumbidde magezi g’abasawo okwewala obukyafu yadde nga babasomesezza ekimala.