Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi mu Owino beecwacwanye
Okuwulira omusango gw’abasuubuzi ba Katale ka ST Balikuddembe kuzzeemu akakyankalano oluvanyuma lw’abasuubuzi okuva mu mbeera oluvanyuma lw’okikitegerako nti omu ku bakwasisa empisa aba KCCA alina emmundu.
Bano bavudde mu mbeera nebalumba omusajja ono eyebulankanyizza n’abulawo olwo poliisi nebiyingiramu mangu okutakiriza embeera.
Yye omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto kati alagidde nti okukyuusa ekyapa ky’akatale ka Balikuddembe okudda mu mannya ga Slowa kuyimirizibwe okutuuka ng’omusango omukulu guwuliddwa ku lw’okutaano.