Amawulire
Cindy alemereddwa okukkaanya ne bba ku mwana
Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa ennyo nga Cindy alemereddwa okutegeragana ne bba kw’ani aba abeera n’omwana waabwe
Kkooti y’amaka e Nakawa yali yabalagira okusooka bateese ne bba Mario Brunet kyokka nga Cindy ategeezezza bannamawulire nti eby’emirembe bigaanye.
Cindy agamba nti kimwewunyisa okulaba ng’eyali bba agamba nti y’alina okusigaza muwala waabwe kubanga amusing ssente ng’amukyaalirako ku wiikendi kwokka
Mario yatwala Cindy mu kkooti ng’ayagala afune obuvunanyibwa ku muwala waabwe ow’emyaka 3.
Kati omusango mu butongole gwakuwulirwa nga June 26, 2014.
Yye Cindy abadde yakawawaabira bb anti talabirira mwana waabwe ate ng’ayagala nga kumunyakulako bizinensi gyebatandikawo ababiri.