Ebyobusuubuzi

Ebyenfuna ssi bibi nnyo

Ali Mivule

June 5th, 2014

No comments

Market

Nga ebula mbale omukulembeze w’eggwanga ayogereko eri eggwanga abakugu mu by’enfuna bategezezza nga eggwanga bweritakola bubi nyo mu byanfuna nga abamu bwebagamba.

Bwiino okuva mu Banka enkulu alaga nti eggwanga likuze ebitundu 5% yadde nga abasing baali balisuubira kukulira ku biyundu 6%.

Omukugu  Elly Twineyo agamba ebiseera by’enfuna by’eggwanga bitangaavu nga n’amagoba banka enkulu kwewolera gaze gakka.

Wabula ye ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala  Everest Kayondo bino byonna abiwakanya era agamba nti pulezidenti museveni bwaba ayogerako eri eggwanga akirize nti ebyenfuna by’eggwanga byakonziba dda era pulezidenti alina okubaako nekyakola ku nsonga eno.