Amawulire

Abasoba mu 100 beebakwatibwa e Namugongo

Ali Mivule

June 5th, 2014

No comments

Namugongo shrines

Bannaddiini ku biggwa by’abajulizi e Namugongo beesambye abantu abakyakonkomalidde ku biggwa

Bwanamukulu w’ekigo kye Namugongo Father Emanuel Kimbowa agamba nti abantu bano abasinga baba bali ku byaabwe.

Ono agamba nti abasinga ssi kituufu nti tebaba na ntambula wabula baba bagaala kunyagirako bantu nga beefula abalamazi.

Abantu abasoba mu 100 beebakwatibwa poliisi e Namugongo

Aduumira poliisi mu kampla n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi agamba nti abasinga ku bano babadde babbi

Kaweesi wabula wabula agambye nti bamaze okusunsulamu mu baakwatiddwa nga kati basigazzaawo abantu 43 abagenda okusimbibwa mu kkooti

Bboa baana munaana beebabulwaako bakadde baabwe kyokka nga bangi bakwataganyizza n’abantu baabwe

Bwo obubenje buna bwebwaliwo kyokka ng’ekirungi nti tewali yafa.