Ebyobulamu

Okukola dduyiro ddagala lya kokoolo

Ali Mivule

June 9th, 2014

No comments

exrcises

Okukola dduyiro kiyamba abakyala beebajjanjaba kokoolo w’amabeere okuwona amangu

Abanonyereza abazudde bino ba mu America kyokk anga bagamba nti ekyenyamiza nti abakyala bangi tebakola dduyiro

Abanonyereza bano basabye abajjanjaba abalina kokoolo okubawa amagezi okukola ennyo dduyiro kubanga kibayambako

Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bakyala abawerera ddala 1,735  abali wakati w’emyaka 20 ne 74 abalina kokoolo w’amabeere.

Okunonyereza kuno kwatandika okuva mu mwaka gwa 2008 okutuuka mu mwaka 2011 mu kibuga North Carolina.