Amawulire

Amaggye Galabudde Abayimbi-Muve ku byambalo byaffe

Ali Mivule

June 13th, 2014

No comments

PADDY

Eggye ly’eggwanga lirabudde abayimbi abegumbulidde omuze gw’okwambala ebyambalo bya maggye awatali kufuna lukusa okuva eri ab’obuyinza.

Mu mateeka, abantu baabulijjo tebakirizibwa kwambala byambalo bino nga era akwatibwa singa gumukka mu vvi asibwa emyaka egitasukka 7.

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga paddy Ankunda agamba nti abantu baabulijjo basanye okwewalira ddala okwambala ebyambalo byamaggye naddala mu biseera bino nga obuzzi bw’emisango bweyongedde n’abakyamu abesomye okutuusa obulabe ku ggwanga.

Agamba nti abo bonna abalina ebyambalo bino basaanye okubitwala eri ebitongole ebikuuma ddembe okwewala obuzibu bwonna.