Amawulire
Abakadde balwana okufuna ezaabwe
Abakadde ebitundu bibiri ku kikumi bokka beebafuna akasiimo kaabwe nga bakeetaga.
Bino biri mu alipoota ekoleddwa banka y’ensi yonna ku bakadde n’ebyenfuna byaabwe kko n’obulamu mwebabeera okutwaliza awamu
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza alipoota eno, omukugu mu nsonga z’ebyenfuna, Rachael Sebudde agambye nti Uganda lyerimu ku mawanga agatafa ku bakadde abaweza akakadde kamu mu emitwaalo ana.
Alipoota eno esaba nti wabeewo enkola ennungamu ku ngeri abakadde gyebayinza okulabirirwaamu obutevuma bulamu.
Bino bigenze okujja nga kooti ekyakola ku misango gy’abagambibwa okwezibika ensimbi z’abakadde.