Ebyobulamu

Aspirin temumuwa ba mutima

Ali Mivule

June 18th, 2014

No comments

aspirin

Abasawo bawereddwa amagezi okukozesa eddagala eppya ku bantu b’emitima mu kifo ky’okugaba Aspirin.

Bino biri mu mateeka amappya agafulumiziddwa ettendekero ly’ebyobulamu mu ggwanga lya Bungereza.

Bano bagamba Aspirin ono avaako abantu okusanyalala eky’obulabe eri obulamu.

Ababadde bakozesa Aspirin bawereddwa amagezi okukozesa eddwagala eddala nga Warfarin kubanga teririna bulabe

Ebivudde mu bakugu bano bisuubirwa okukosa abalwadde bangi ab’omutima ababadde bakozesa Aspirin.