Amawulire
Natti ku Uganda- Gavumenti tetidde
Gavumenti egamba nti tejja kumpondoka nti ewagira bisiyaga yadde enatiisibwatiisibwa.
Kino kiddiridde gavumenti ya America okulangirira natti ku Uganda ng’abo bonna abalwanyisa abasiyazi ssibakukkirizibwa mu ggwanga lino era nga n’ensimbi zenyini America z’essa mu byobulamu, ebyamaggye ne poliisi ezisazeeko.
Omubaka akiikirira abantu be Ndorwa mu bugwanjuba David Bahati agamba nti ekikoleddwa America kikuba ecukwe kyokka nga tekyewunyisa
Bahati agamba nti buli ggwanga lirina eddembe okukola kyeryagaala nga America yenyini ate etumbula eddembe teyandikoze kino
Abamu ku bakoseddwa nnati kwekuli ne minisitule y’ebyobulamu kyokka ng’ate omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Asuman Lukwago agamba nti ekibaluwa kyebaafunye okuva mu America kiraga nti basasizzaamu ekirowoozo kino nga balindiridde kulaba oba ebyogerwa bituufu.
N’amaggye googedde ku nsonga eno kyokka nga go gagamba nti tegannasalwa ko nsimbi.
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Paddy Ankunda agamba kyokka nga nebwekibaawo, tebajja kukyuusa ndowooza yaabwe ku nsonga eno