Ebyobulamu
Sukaali atuuza abazungu obufofofo
Mu ggwanga lya Bungereza abalwanyisa obulwadde bwa sukaali bagaala wabeewo emisolo emikakali ku sukaali
Ab’ekibiina ekya Action on Sugar baliko ensonga musanvu zebalambuludde nga bagamba nti zeezivuddeko obulwadde buno obweyongera naddala ku baano
Muno mwemuli eby’okunywa kko n’emmere ebijjudde sukaali nga buli omu byetettanira
Bagaala era wabeewo n’okukoma ku birango ebitumbula emmere ejjudde ewomeerera nga bagamba nti bino byebimu ku biwanise sukaali mu baana
Mu ggwanga lya Bungereza, sukaali afuuse kya bulijjo nga akwata b’abaana abato olw’ebintu byebalya.
Ku buli baana bataano b’osanga, kubaako omu alina sukaali oba nga munene ekiyitiridde