Amawulire

Abaana 2 bafiiridde mu muliro

Ali Mivule

June 24th, 2014

No comments

House on Fire fresh

Abaana babiri basirikkidde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde balekeddwa.

Enjega eno ebadde Bugembe mu disitulikiti ye Jjinja.

Abaana abafudde kuliko ow’emyaka 3 n’omulala ow’emyaka 7.

Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu kya Wanyama Road Moses Kidaaga ,bakadde b’abaana bano babalese mu nyumba ekiro ate nebalekako akasubbaawa era ng’omuliro gukutte tewali ayinza kuyamba.

Kidaaga agamba nti abazadde bano bagenda kuggulwaako misango gyakulagajjalira baana.