Amawulire
Kooti teziridde nguzi woowe
Ekibiina ekirwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga kifulumizza alipoota eraze nga abalamuzi mu kkooti ento mu bibuga ne mu byalo bwebalya enguzi nebadda nemukati nebewogoma.
Okusinzira ku alipoota eno, okunonyereza kukoleddwa mu makooti g’ebitundu nga Nakawa,Buganda road,Mukono,Kasangati Mityana Mpigi ,Kabale ,Kisolo n’ewalala.
Alipoota eraga nga abalamuzi bwebasaba ekyoja mumiro okuva eri abavunanwa okusobola okweyimirirwa.
Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba agamba era kizuliddwa nga abalamuzi abamu bwebabuza fayilo z’emisango olw’obutaba nankola yakutereka biwandiiko nungi, okukola emirimu gyabwe mungeri ya gadibe ngaye nga n’embalirira y’ensimbi ebatawanya.
Wabula ye omwogezi w’essiga eddamuzi Erias Kisawuzi agamba wakusooka kwekenenya alaipoota eno nga tanabako kyayogera.