Amawulire

Abe Makerere bazzeemu- babanja nsako

Ali Mivule

June 30th, 2014

No comments

MUK

Abakozi mu ttendekero lye Makerere bazzeemu okutabuka ku nsako yaabwe

Abatwaala ettendekero lino babawadde ennaku ssatu nga babasasudde omwezi gw’okutaano n’omukaaga

Bano bamaze okukuutira ab’ettendekero omukuku gw’ebbaluwa nga bagamba nti tebatawaana okuggulawo olusoma olujja nga tebannaba kubasasula nsimbi zebabanja eziweza obuwumbi 4.

Omwaka oguwedde ab’ettendekero bayisa nti abakozi bonna basasulwe ensako yaabwe era nga kino kyaddirira akeediimo akamala ssabbiiti bbiri.

Akulira abakozi mu ttendekero Dr. Mohamed Kigundu agamba nti ab’ettendekero balina okubanyonyola lwaki tebabawa nsimbi zaabwe ate ng’abayizi bonna basasula ebisale

Omwogezi w’ettendekero Ritah Namisango akkirizza okufuna ebbaluwa y’abakozi era nga bali mu kwogeraganya nabo.

Namisango wabula agambye nti ettendekero lirina obuzibu bw’ensimbi era nga bakalubiriziddwa okuwa abakozi akasiimo.