Amawulire
Poliisi ekyusizza mu ba ofiisa abaliwo ng’embizzi ziri ku palamenti
Poliisi esambazze ebigambibwa nti ewummuzizza abakyala bana okua ku palamenti gyebabadde bakuuma lwakubeera mbuto.
Abakyala bano okuli Peace Mary, Namubiru Alaisa, Mirembe Rosette ne Christian Nakirya Christian bakyusiddwa awatali kunyonyola kwonna
Ababaka mu palamenti basabye dda akulira poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nsonga eno nga bagamba nti olubuto ssi bulwadde era tekiyinza kuwummuzisa Muntu
Wabula amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye agamba nti bano beebamu ku ba ofiisa ba palamenti a bakyusiddwa olw’okulagajjala embizzi neziyingizibwa mu palamenti.
Namaye agamba nti ssi bakyala bano bokka beebakyusiddwa wabula ba ofiisa abasinga abaaliwo.