Amawulire

Eyatta abayizi asibiddwa emyaka 3

Ali Mivule

July 2nd, 2014

No comments

Army car

Omusajja eyakoona abayizi b’essomero lya Kololo Secondary School ku lw’okutaano asibiddwa emyaka esatu

Kiddiridde omusajja ono okulemererwa okusasula obukadde 14 eza fayini.

Omusajja onoa manyiddwa nga Imaam Isaac nga mutuuze we Kasubi teyegaanye misango gyakuvugisa kimama n’okuvuga nga talina biwandiiko bweyalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza

Omusajja ono yeeyali mu mmotoka kika kya Rav 4 eyatta abantu 2 nga bayizi era n’alumya musanvu.

Bbo abantu kkumi abalumizibwa mu kabenje e Kiwoko bakyaali mu mbeera mbi e Mulago.

Omu ku basawo e Mulago, Victo Mukasa agambye nti abantu bano babaleese bali 11 kyokka omu n’afa

Bano bakoseddwa mu kabenje akabadde e Nabisijjo mu disitulikiti ye Nakaseke  ku lunaku lwa sunday