Ekitongole ekikola ku ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kiteekateeka okukyuusa mu ddagala ly’ekijja ebweru okujjanjaba ebisolo.
Akulira ekibiina kino Gordon Ssematiko agamba nti bafunye amawulire nti eddagala erimu ku lyebayingiza terikyakola ku ndwadde ezimu
Ono agamba nti eddagala erimu nga acaricides eririna okukozesebwa okutta enkwa libadde terikyakola.
Kino kikakasiddwa mu disitulikiti eziwerera ddala 14 okuli Kiruhura,Isingiro,Mbarara n’endala.