Amawulire

Gyiweze Emyaka 4 Bukyanga Bomu Zitta Bannakampala

Ali Mivule

July 11th, 2014

No comments

bomb

Olunaku olwaleero gyiweze   emyaka 4 bukyanga  batujju ba Al-shabab batega bomu wali ku Kyaddondo Rugby Grounds ne Ethiopian Village e Kabalagala ne batta abawagizi b’omupiira abasoba mu 70.Bano baali balaba fayinolo y’ekikopo kyensi yonna wakati w’eggwanga lya Netherlands ne Spain.

 

Kuluno poliisi eyongedde okulabula abantu bonna okubeera obulindaala ku by’okwerinda byabwe naddala nga bategekera okulaba fayinolo y’omwaka guno ku Sande  wakati w’eggwanga lya Germany ne Argentina.

 Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye ategezezza nga abalabi b’omupiira bwebatuuka mu kifo kyonna nebatabaaza bulungi, bakyamuke

 Gyebuvuddeko poliisi  yeemu yasabye abo bonna abagenda okulaga fayinolo y’omwaka guno eri abantu abanji okwewandiisa nayo okusobola okwekenenya eby’okwerinda byaabwe, wabula webutuukidde olunaku olwaleero nga ekisaawe ky’e Namboole kyokka kyekyakatukiriza kino.

 Amakya galeero omusasi waffe Herbert Ziwa atuuseko wali ku Kyaddondo Rugby Grounds awaagwa enjego eno  wabula nga ebyokwerinda bikyabulamu olw’abantu abayingira n’okufuluma nga tebaaziddwa.