Skip to content Skip to footer

11 bebakakwatibwa ku byabaana bebasadaaka e Mpigi

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district y’e Mpigi eriko abantu abalala 5 beekutte wakati mu kunonyereza kwebaliko ku kisaddaaka abaana 2 ekyalai ku kyalo Kalagala-Gayaza mu ggombolola y’e Nkozi, wiiki ewedde.

Akulira okunonyereza ku buzzi bw’emisango mu district y’e Mpigi Andrew Ainembabazi agambye abakwate kuliko ne nanyini kibira ebiwuduwudu byabaana bano mwebyasangibwa.

Bano kati beegasse ku banatu abalala 6 abasooka okukwatibwa okwali n’omusawo ow’ekinnansi, nga bonna bakuumibwa mu ku poliisi e Mpigi.

Ebisigalira bya Peace Nalweyiso owemyaka 12 eyali asoma P5 ne Nicholus Muyingo owemyaka 10 eyali asoma P3 ku ssomero lya St. Bernadette Nkozi Demonstration P/S byasangibwa mu kibira Namagongolo, nga poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5